s

f

Ensawo ya munnomukabi omutemwa gwa 3,000/= buli mwezi ezikola omugatte gwa 36,000/= omwaka omulamba, zijja okutuyambangako mu nsonga zino wamanga:

  • Okulwala – singa munnaffe atuuka ku mbeera naddala okulongosebwa oba okuweebwa ekitanda okusinziira ku bulwadde obumuluma.
  • Okufiirwa – omu ku ffe nga afiiriddwa omwana, omwami, omukyala, oba omuzadde we.
  • Okusibwa – ng’osibiddwa mu kkomera wabula nga ekyo ekikusibizza si ggwe okinaawuzza.
  • Okusanyukirako awamu – akabaga k’abavubuka aka buli nkomerero ya mwaka.
  • Ttabamiruka – okuyambako mu kutegeka ttabamiruka waffe nga abavubuka owa buli mwaka.

o

Okutumbula omutima gw’okutereka ensimbi mu bazzukulu ba Ssettaala nga tuyita mu kutereka omutemwa buli mwezi ezinaateekebwa ku Akawunti enakkaanyizibwako.

Okuwola bannakibiina sente z’okwekulaakulanya nga tuteeseeko amagoba n’obukwakkulizo obunakkaanyizibwako.

Okutandika, okutumbula n’okutambuza emirimu, ebyobusuubuzi omuli amakolero, okusuubula oba okukola emirimu eginaayamba ekibiina okufuna sente.
Okusiga sente z’ekibiina mu mirimu n’ebintu ebifuna omuli obulimi, ettaka n’ebirala bingi.

Ensawo ya enkulaakulana omutemwa gwa 20,000/= buli mwezi ezikola omugatte gwa 240,000/= omwaka mulamba.

© 2025 All rights reserved by Obasegi. Design by: AlisonTechnologies